I love Juliana.
Nabikoowa- I really love the lyrics.very sweet
plus
the guy on that video is very hawt.Hey, ooh ndifuna omulala
Eh, ah
Verse 1
Ekintu kyolina oba okivuluga
Bwokimala nekigwaawo
Olwo noopapa
Newejjusa nti singa nakifaako
Bwenzijukira ebiseera ebyo
Amaziga neganyunguka
Wanjoogajooga nyo
Nange sirikuddira
Nze nakwesonyiwa nemmala
Nememe yange neekuta
Okukwagala yali nsobi
Ndayira sirikuddira
Chorus 2x
Nebwolikola otya
Wampisa bubi nange nenkukyawa
Ebyokulumwa omutima olukedde
Nabikoowa nange
Verse 2
Bwennakulaga omukwano ogujudde
Wampita ffala
Walowooza ndibye
Nobeera bwotyo nga ondibaga
So nga abaneegomba ntoko
Ndi mutto era mbakuba nyo
Wansubya nabingi nyo bwendaba
Wali wafuuka enkomera gyendi
Abalungi bangi
Ndifuna omulala kanoonye
Tebampima kugwe nti abalala
Tebantuuka
Repeat Chorus 2x
Verse 3
Kati omutima ogwange
Ngukuuma nyo
Wenamanyiira wo navaawo gyenakoma
okwagala enyo
Gyenakoma okukyawa
Obulumi bwewampisaamu
Amaziga amangi agaakulukuta
Mpozzi nga ngudde ddalu
Siyinza kukudira no, no nedda
Chorus till fade
"The true measure of a man is how he treats someone who can do him absolutely no good.